| 1 |
Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota: era, laba, yali ayimiridde ku mugga. |
| 2 |
Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. |
| 3 |
Era, laba, ente eadala omusanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne zipimirira ku mabbali g'omugga awali ente endala. |
| 4 |
N'ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n'azuukuka. |
| 5 |
Ne yeebaka n'aloota omulundi ogw'okubiri: era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi. |
| 6 |
Era, laba, ebirimba musanvu ebitono ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera. |
| 7 |
Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebigimu ebinene. Falaawo n'azuukuka, era, laba, kibadde kirooto. |
| 8 |
Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinia okutegeeza Falaawo amakulu gaakyo. |
| 9 |
Omusenero omukulu n’alyoka agamba Falaawo nti Njijukidde leero okwonoona kwange: |
| 10 |
Falaawo yasuaguwalira abaddu be, n'ansibira mu unyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu: |
| 11 |
ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali. |
| 12 |
Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'e,birooto byaffe; yategeeza buli muntu ag'ekirooto kye bwe kyali. |
| 13 |
Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika. |
| 14 |
Falaawo n'alyoka atuma n’ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n’ayingira eri Falaawo. |
| 15 |
Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira. |
| 16 |
Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera ati Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe |
| 17 |
Falaawo n'agamba Yusufu nti Mu kirooto kyaage, laba, nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga: |
| 18 |
era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu, eza ssava ennungi; ne ziriira mu lusa: |
| 19 |
era, laba, ente musanvu eadala ne ziziddirira ne zirinnya, ennafu embi ennyo enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri obubi: |
| 20 |
ente enkovvu embi ne zirya ente omusaavu eza ssava ezisoose: |
| 21 |
awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne azuukuka. |
| 22 |
Ne ndabira mu kirooto kyange, era, laba, ebirimba musaavu ne bimera ku kiti kimu, ebinene ebirungi: |
| 23 |
era, laba, ebirimba musaavu, ebiwotose, ebitono, ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba, ne bibiddirira ne bimera |
| 24 |
ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebizungi omusanvu: ne nkibuulira abasawo; naye siwali ayinza okukintegeeza. |
| 25 |
Yusufu n'agamba Falaawo ati Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katoada by'ageada okukola, yabibuulira Falaawo. |
| 26 |
Ente omusanvu ennungi gy’emyka omusaavu; n'ebirimba omusanvu ebirungi gye myaka omusanvu: ekirooto kiri kimu. |
| 27 |
N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala. |
| 28 |
Ekyo kye kigambo kye mbuulidde Falaawo: Katonda by'agenda okukola, yabiraga Falaawo. |
| 29 |
Laba, girijja emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri: |
| 30 |
oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyska musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'eajala erizikiriza ensi; |
| 31 |
n'ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw'enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo. |
| 32 |
Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu. |
| 33 |
Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga easi ey'e Misiri. |
| 34 |
Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu egy'ekyengera. |
| 35 |
Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. |
| 36 |
N'emmera eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nai ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala. |
| 37 |
N'ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Faiaawo, ne mu maaso g'abaddu be bonna. |
| 38 |
Falaawo n'agamba abaddu be nti Tuliyinza ohulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda |
| 39 |
Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze cbyo byonaa, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe: |
| 40 |
gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abanntu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu. |
| 41 |
Falaawo n’agamba Yusufu nti Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri. |
| 42 |
Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. |
| 43 |
N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri. |
| 44 |
Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze adi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna eye Misiri. |
| 45 |
Falaawo n'atuuma Yusufu erianya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. |
| 46 |
Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka we Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. |
| 47 |
Ne mu myaka omusanvu egy'ekyengera ensi n'ebala emmere mu bungi. |
| 48 |
N'akuŋŋaaayanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n’aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnuniro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo. |
| 49 |
Yusufu n'atereka eŋŋaano ag'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika. |
| 50 |
Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaansi omwana wa Potiferi kabona owe Oni be yamuzaalira. |
| 51 |
Yusufu n'atuuma omubereberye erinaya Manase: nti Kubaaga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna. |
| 52 |
N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange. |
| 53 |
Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. |
| 54 |
Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri. |
| 55 |
Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo. |
| 56 |
Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri. |
| 57 |
N'ab'ensi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri okugula eŋŋaano; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna. |
| |
|