| 1 |
Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, |
| 2 |
mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby'emirembe n'emirembe nga tebinnabaawo; |
| 3 |
naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri; |
| 4 |
eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli. |
| 5 |
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga a nga nze bwe nnakulagira; |
| 6 |
omuntu w'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda. |
| 7 |
Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangako musango, ng'omuwanika wa Katonda; si mukakanyavu, si wa busungu, si ayombera ku mwenge, si akuba, si eyeegomba amagoba mu bukuusa; |
| 8 |
naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma; |
| 9 |
anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye. |
| 10 |
Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole, |
| 11 |
abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa: |
| 12 |
Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu. |
| 13 |
Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova oba boggoleranga n'obukambwe, balyoke babeere n'obulamu olw'okukkiriza |
| 14 |
balemenga okuwulira enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima. |
| 15 |
Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa. |
| 16 |
Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi. |
| |
|