| 1 |
Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n'ebibiri ebyasaasaana, mbalamusizza. |
| 2 |
Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; |
| 3 |
nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. |
| 4 |
Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna. |
| 5 |
Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. |
| 6 |
Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. |
| 7 |
Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe |
| 8 |
omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna. |
| 9 |
Naye ow'oluganda omukopi yeenyumirizenga olw'obukulu bwe: |
| 10 |
era n'omugagga yeenyumirizenga olw'okukopawala kwe: kubanga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo. |
| 11 |
Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe. |
| 12 |
Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga' bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala. |
| 13 |
Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna: |
| 14 |
naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa. |
| 15 |
Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa. |
| 16 |
Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa. |
| 17 |
Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayiriza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka. |
| 18 |
Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye. |
| 19 |
Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu iabeerenga, mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala |
| 20 |
kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. |
| 21 |
Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe. |
| 22 |
Naye mubeerenga bakozi, ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. |
| 23 |
Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu leyeeiaba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: |
| 24 |
kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye. |
| 25 |
Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwaaga omukisa mu kukola kwe. |
| 26 |
Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziiza. lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe eddiini y’oyo teriiko kyegasa. |
| 27 |
Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi. |
| |
|