| |
|
|
| 1 |
Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti |
| 2 |
Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama. |
| 3 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino. |
| 4 |
Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama. |
| 5 |
Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne; |
| 6 |
bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini: |
| 7 |
kale ndibatuuza mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna. |
| 8 |
Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa. |
| 9 |
Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga, |
| 10 |
ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno erituumibwa eritmya lyange, ne mwogera nti Tuwonyezebbwa; mulyoke mukole emizizo egyo gyonna? |
11 |
Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama. |
| 12 |
Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri. |
| 13 |
Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama; ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba: |
| 14 |
kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange; gye mwesiga, n'ekifo kye nnawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro. |
| 15 |
Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu. |
| 16 |
Kale tosabiranga bantu bano so tobayimusizanga kukaaba newa. kubadde okusaba, so tonneegayiri. ranga okuwolereza, kubanga siikuwulire. |
| 17 |
Tolabye bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? |
| 18 |
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta okufumbira kabaka w'eggulu omu kazi emigaati, n'okufukira bakatondi abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansunguwaze. |
| 19 |
Basunguwaza nze? bw'ayogera Mukama tebeesunguwaza bo bennyini, oku swaza amaaso gaabwe bo? |
| 20 |
Mu kama Katonda kyava ayogera bw'at nti Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange birifukibwa ku kif kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so te bulizikizibwa. |
| 21 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama. |
| 22 |
Kubanga saayogera ne baajjammwe so saabalagira ku maku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri eby'ebiweebwayo ebyoebwa newakubadde ssaddaaka: |
| 23 |
naye ekigambo kino kye nnabaagira nti Muwulirenga eddoboozi yange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga nu kkubo lye mbalagira, mulyoke nube bulungi. |
| 24 |
Naye ne batanfiira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu mu mutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera nu maaso. |
| 25 |
Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma: |
| 26 |
era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaamwe. |
| 27 |
Era obagambanga ebigambo bino byonna; naye tebaakuwulitenga; era obakoowoolanga, naye tebaakuyitabenga. |
| 28 |
Era obaganbanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza tuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe. |
| 29 |
Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez'obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe egy'obusungu bwe, abaleseeyo. |
| 30 |
Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama: batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona. |
| 31 |
Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekyayingira mu mutima gwange. |
| 32 |
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu. |
| 33 |
N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsi; so tewaliba alizisaggula. |
| 34 |
Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'o mugole: kubanga ensi erifuuka nsiko. |
| |
|