| |
|
|
| 1 |
Zisanze abasumba abazikiriza abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange! bw'ayogera Mukama. |
| 2 |
Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera bw'ati eri abaumba abaliisa abantu bange nti Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'eiikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama. |
| 3 |
Era ndikuŋŋaanya abaisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne nbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala balyeyongera. |
| 4 |
Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so ebalikeŋŋentererwa, so tewaliba balibula, bw'ayogera Mukama. |
| 5 |
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alituukiriza emisango n'eby'esonga mu nsi. |
| 6 |
Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mirembe: era lino lye linnya ye ly'alituumibwa nti Mukama me butuukirivu bwaffe. |
| 7 |
Laba, nnaku kyeziva zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nate nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri; |
| 8 |
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu nsi zonna gye nnabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo. |
| 9 |
Ebya bannabbi. Omutima gwange munda yange gumenyese, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. |
| 10 |
Kubanga ensi ejjudde abenzi; kubanga ensi ekungubaga olw'okulayira; amalundiro ag'omu ddungu. gakaze; n'amagenda gaame mabi, n'amaanyi gaabwe si malungi. |
| 11 |
Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, nu nnyumba yange mwe nnalabira obubi bwabwe, bw'ayogera Mukama. |
| 12 |
Amakubo gaabwe kyegaliva gabeera gye bali ng'obuseerezi mu kizikiza: balisindikibwa ne bagwa omwo: kubanga ndibaleetako obubi, gwe mwaka mwe balibonerezebwa, bw'ayogera Mukama. |
| 13 |
Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; balagula ku lwa Baali ne bakyamya abanni bange Isiraeri. |
| 14 |
Era ndabye ekigambo eky'ekiwe ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne banyweza emikono gy'abo abakola obubi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe: bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga Ggomola. |
| 15 |
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi nti Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa: kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna. |
| 16 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi ababalagula; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa: boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so okutavudde mu kamwa ka Mukama. |
| 17 |
Bagamba olutata abo abannyooma nti Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; na buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe ye bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira. |
| 18 |
Kubanga ani eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere awulire ekigambo kye? ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira? |
| 19 |
Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, weewaawo, kibuyaga w'akazimu: aligwa ku mutwe gw'ababi. |
| 20 |
Obusungu bwa Mukama tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe bye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala. |
| 21 |
Saatuma bannabbi abo, naye ne baddukana mbiro: saayogera nabo, naye ne balagula. |
| 22 |
Naye singa bayimirira mu kuteesa kwange, kale bandiwulizza abantu bange ebigambo byange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi n'obubi obw'ebikolwa byabwe. |
| 23 |
Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala? |
| 24 |
Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? bw'ayogera Mukama. Sijjula ggulu n'ensi? bw'ayogera Mukama. |
| 25 |
Mpulidde bannabbi bye boogedde abayima mu linnya lyange okulagula eby'obulimba, nga boogera nti Ndoose, ndoose. |
| 26 |
Ebyo birituusa wa okuba mu mutima gwa bannabbi abalagula eby'obulimba; bannabbi ab'obukyamu obw'omu mutima gwabwe bo? |
| 27 |
Abalowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe bye babuulirana buli muntu munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali. |
| 28 |
Nnabbi aloota ekirooto abuulirenga ekirooto, n'oyo alina ekigambo kyange ayogerenga ekigambo kyange n'obwesigwa. Ebisusunku kiki okwenkana n'eŋŋaano? bw'ayogera Mukama. |
| 29 |
Ekigambo kyange tekifaanana muliro? bw'ayogera Mukama; era tekifaanana nnyondo eyasaayasa olwazi? |
| 30 |
Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne. |
| 31 |
Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti Ayogera. |
| 32 |
Laba, ndi mulabe w'abo abalagula ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu: naye saabatuma so saabalagira; so tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama. |
| 33 |
Awo abantu bano oba nnabbi bwe balikubuuza nga boogera nti Omugugu gwa Mukama kye ki? kale n'obagamba nti Mugugu ki! Ndibagoba, bw'ayogera Mukama. |
| 34 |
Ne tmabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye. |
| 35 |
Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne na buli muntu muganda we nti Mukama azzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki? |
| 36 |
N'omugugu gwa Mukama temukyagwatula nate: kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwanyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye Katonda waffe. |
| 37 |
ebya Mukama w'eggye Katonda waffe. 37 Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti Mukama akuzzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki? |
| 38 |
Naye bwe mulyogera nti Omugugu gwa Mukama; Mukama kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, nti Omugugu gwa Mukama, nange mbatumidde nga njogera nti Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama; |
| 39 |
kale, laba, ndibeerabirira ddala, era ndibasuula n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe okuviira ddala we ndi: |
| 40 |
era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi ezitalivaawo ezitalyerabirwa. |
| |
|