| |
|
|
| 1 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta ku Babulooni ne ku abo abali mu Lebukamaayi embuyaga ezizikiriza. |
| 2 |
Era nditumira Babulooni bannaggwanga balikiwujja; n'ensi yaakyo baligimalamu byonna: kubanga balikirumbira enjuyi zonna ku lunaku lw'okulabiramu ennaku. |
| 3 |
Omulasi aleme okunaanuula omutego we, so aleme okweyimusa ng'ayaabadde ekizibawo kye eky'ebyuma; so temusonyiwa balenzi baamu; muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna. |
| 4 |
Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafunitiddwa mu nguudo zaakyo. |
| 5 |
Kubanga Isiraeri talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, newakubadde Yuda; ensi yaabwe ng'ejjudde omusaango gwe bazza eri omutukuvu wa Isiraeri. |
| 6 |
Mudduke muve mu Babulooni wakati, muwonye buli muntu obulamu bwe; temuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo: kubanga bye biro Mukama mw'awalanira eggwanga; likisasula empeera. |
| 7 |
Babulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu nukono gwa Mukama, ekyatamiiza ensi zonna: amawanga ganywedde ku mwenge gwakyo; amawanga kyegavudde galaluka. |
| 8 |
Babulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde: mukiwowogganire; muddire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba nga mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa. |
| 9 |
Twandiwonyezza Babuooni, naye tekiwonye: mukireke, tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe ye; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bbanga. |
| 10 |
Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe: mujje tubuulire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe. |
| 11 |
Muzigule obusaale, muiyweze engabo: Mukama akubirizza omwoyo gwa bakabaka b'Abameedi; kubanga okuteesa kwe kuli eri Babulooni okukizikiriza: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa yeekaalu ye |
| 12 |
Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi: kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babulooni. |
| 13 |
Ai ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, ekigera ky'omululu gwo. |
| 14 |
Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti Mazima ndikujjuza abasajja nga bulusejjera; era balikukuba olwogoolo. |
| 15 |
Yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe: |
| 16 |
bw'aleeta eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. |
| 17 |
Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ekifaananyi kye ekyole kimukwasa ensonyi: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so mu byo temuli mukka, |
| 18 |
Birerya, mulimu gwa bulimba: mu biro mwe birijjirirwa birizikirira. |
| 19 |
Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo: kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye. |
| 20 |
Ggwe mbazzi yange erwana, era eby'okulwanyisa byange: era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka; |
| 21 |
era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde; |
| 22 |
era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu; era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omulenzi; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala; |
| 23 |
era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi n'omugogo gwe ogw'ente; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuga n'abasigire. |
| 24 |
Era ndisasula Babulooni n'abo bonna abali mu Bukaludaaya obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama: |
| 25 |
Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna: era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya. |
| 26 |
So tebalikuggyako jjinja okuba ensonda, newakubadde ejjinja ery'emisingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama. |
| 27 |
Musimbe ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako: mukigabire omugabe; mulinnyise embalaasi ng'obuwuka obuliko obwoya. |
| 28 |
Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire bonna abaamu, n'ensi yonna gy'atwala. |
| 29 |
Era ensi ekankana, erumwa: kubanga ebyo Mukama bye yamalirira eri Babulooni binywera, okufuula ensi y'e Babulooni amatongo, nga tewali abeeramu. |
| 30 |
Abasajja ab'amaanyi ab'e Babulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bifo byabwe eby'amaanyi; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng'abakazi: ennyumba zaakyo zookeddwa; ebisiba byakyo bimenyese. |
| 31 |
Matalisi omu aliddukana okusisinkana ne munne, n'omubaka omu okusisinkana ne munne, okunnyonnyola kabaka w'e Babulooni ng'ekibuga kye kimenyeddwa enjuyi zonna: |
| 32 |
era basoonookerezza amawungukiro n'endago bazookezza omuliro, n'abasajja abalwanyi batidde. |
| 33 |
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Omuwala wa Babulooni aliŋŋanga egguuliro mu biro lwe balisambiramu; ekyasigaddeyo ekiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu birikituukira. |
| 34 |
Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng'ogusota, ajjuzizza olubuto lwe eby'okuliira byange ebirungi; ansudde. |
| 35 |
Ekyejo ekyagirirwa nze n'omubiri gwange kibeere ku Babulooni, ali mu Sayuuni bw'alyogera; era Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya, Yerusaalemi bw'alyogera. |
| 36 |
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga: era ndikaliza ennyanja yaakyo, era ndimalawo ensulo yaakyo. |
| 37 |
Kale Babulooni kirifuuka bifunvu, ekifo eky'ebibe eky'okubeeramu, ekyewuunyo, n'okusoozebwa, nga tewali akibeeramu. |
| 38 |
Baliwulugumira wamu ng'empologoma ento; balivuumira wamu ng'abaana b'empolo goma. |
| 39 |
Bwe balibuguumirira, lwe ndifumba embaga yaabwe, era ndibatamiiza, basanyuke, era beebake otulo otutaliggwaawo, so baleme okuzuukuka, bw'ayogera Mukama. |
| 40 |
Ndibaserengesa ng'abaana b'endiga okuttibwa, ng'endiga ennume wamu n'embuzi emmandwa. |
| 41 |
Sesaki nga kimenyeddwa! n'ettendo ery'ensi zonna nga balisonookerezza! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga! |
| 42 |
Ennyanja erinnye ku Babulooni: olufulube lw'amayengo gaayo lukibisseeko. |
| 43 |
Ebibuga byakyo bifuuse matongo, ensi enkalu n'eddungu, ensi omutali muntu so tewali mwana wa muntu ayitawo. |
| 44 |
Era ndireeta omusango ku Beri mu Babulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira; so n'amawanga nga tegakyakulukutira wamu gy'a1i nate: weewaawo, bbugwe w'e Babulooni aligwa. |
| 45 |
Mmwe abantu bange, muve wakati mu kyo, mwerokole buli muntu ekiruyi kya Mukama. |
| 46 |
So n'omutima gwammwe guleme okuzirika, so temutyanga olw'ekigambo ekiriwulirwa mu nsi; kubanga ekigambo kirijjira mu mwaka gumu, era oluvannyuma mu mwaka omulala ekigambo kirijja n'ekyejo mu nsi, owessaza ng'alwana n'owessaza. |
| 47 |
Kale, laba, ennaku zijja lwe ndireeta omusango ku bifaananyi ebyole ebya Babulooni, n'ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwira wakati mu kyo. |
| 48 |
Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babulooni; kubanga abanyazi balijja gye kiri okuva obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama. |
| 49 |
Nga Babulooni bwe kyagwisa aba Isiraeri abattibwa, bwe batyo e Babulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira. |
| 50 |
Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi; mujjukire Mukama nga muyima wala, era Yerusaalemi kiyingire mu mwoyo gwammwe. |
| 51 |
Tukwatiddwa ensonyi, kubanga tuwulidde ebivume; amaaso gaffe gaswadde: kubanga bannaggwanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby'omu nnyumba ya Mukama. |
| 52 |
Kale, laba, etunaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndireeta omusango ku bifaananyi byakyo ebyole; ne mu nsi yaakyo yonna abaliko ebiwundu balisinda. |
| 53 |
Babulooni newakubadde nga kirinnye okutuusa mu ggulu, era newakubadde nga kinywezezza entikko ey'amaanyi gaakyo, era naye abanyazi balijja gye kiri okuva we ndi, bw'ayogera Mukama. |
| 54 |
Eddoboozi ery'okukaaba erivudde mu Babulooni n'ery'okuzikirira okunene erivudde mu nsi ey'Abakaludaaya! |
| 55 |
kubanga Mukama anyaga Babulooni, era azikirizza oluyoogaano olunene okuva mu kyo; n'amayengo gaabwe gawuuma ng'amazzi amangi, era baleeta okuyoogaana kw'eddoboozi lyabwe: |
| 56 |
kubanga omunyazi akituuseeko, ku Babulooni, n'abasajja baamu ab'amaanyi bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese: kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kuwa mpeera. |
| 57 |
Era nditaamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abasajja baamu ab'amaanyi; era balyebaka otulo otutaliggwaawo so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye. |
| 58 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Babbugwe abagazi b'e Babulooni balisuulirwa ddala, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro; n'amawanga galiteganira obutaliimu, n'ebika biriteganira omuliro; era balikoowa. |
| 59 |
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni wamu ne Zeddekiya kabaka wa Yuda nr mwaka ogw'okufuga kwe ogw'okuma. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu. |
| 60 |
Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okujja ku Babulooni, by bigambo ebyo byonna ebiwandii kiddwa ku Babulooni. |
| 61 |
Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti Bw'olituuka mu Babulooni, kale tolemanga kusoma, ebigambo bino byonna, |
| 62 |
oyogere nti Ai Mukama, wayogera eby'ekifo kino okukizikiriza omuntu yenna aleme okutuula omwo, omuntu newakubadde ensolo, naye kirekebwewo ennaki zonna. |
| 63 |
Awo olulituuka bw'oli mala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja n'okisuula mi Fulaati wakati: |
| 64 |
era olyogera nti Babulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako: era balikoowa. Ebigambo bya Yeremiya we bikoma wano. |
| |
|