| |
|
|
| 1 |
Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti |
| 2 |
Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi; Era mutege okutu gye ndi, mmwe abalina okutegeera. |
| 3 |
Kubanga okutu kukema ebigambo, Ng'amatama bwe galega ku mmere. |
| 4 |
Twerondere ekyo ekinaaba eky'ensonga: Tumanye fekka na fekka ebirungi bwe biri. |
| 5 |
Kubanga Yobu ayogedde nti Nze ndi mutuukirivu, Era nti Katonda anziyeeko ensonga yange: |
| 6 |
Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba; Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga. ssiriiko kusobya. |
| 7 |
Muntu ki afaanana Yobu, Anywa okunyoomebwa ng'amazzi? |
| 8 |
Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi. |
| 9 |
Kubanga ayogedde nti Omuntu tekiriiko kye kimugasa Okusanyukira Katonda. |
| 10 |
Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera: Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu. |
| 11 |
Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe, Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali. |
| 12 |
Weewaawo, mazima Katonda taakolenga bubi, So n'Omuyinza w'ebintu byonna taalyenga nsonga. |
| 13 |
Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka ebintu byoana bwe byenkana? |
| 14 |
Bw'ateeka omutima gwe ku bantu, Bw'akuŋŋaanyiza gy'ali omwoyo gwe n'omukka gwe; |
| 15 |
Byonna ebirina omubiri birizikiririra wamu, Abantu ne badda mu nfuufu. |
| 16 |
Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wulira eddoboozi ly'ebigambo byange. |
| 17 |
Akyawa eby'ensonga oyo alifuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga? |
| 18 |
Kirungi okugamba kabaka nti Ggwe oli mugwagwa? Oba abakungu nti Mmwe muli babi? |
| 19 |
Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira, So talowooza mugagga okusinga omwavu? Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye. |
| 20 |
Bafa mu kaseera akatono, mu, ttuntu; Abantu bakankanyizibwa ne bayitawo, N'ab'amaanyi baggibwawo awatali mukono. |
| 21 |
Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna. |
| 22 |
Tewali kizikiza newakubadde ekisiikirize eky'okufa, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka. |
| 23 |
Kubanga teyeetaaga kweyongera kulowooza omuntu, Atuuke mu maaso ga Katonda okusalirwa omusango. |
| 24 |
Amenyamenya abasajja ab'amaanyi mu ngeri etenoonyezeka, Era assaawo abalala mu kifo kyabwe. |
| 25 |
Kyava alabirira emirimu gyabwe; Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa. |
| 26 |
Abakuba ng'ababi Mu maaso g'abalala aweeru; |
| 27 |
Kubanga bakyama obutamugoberera, So tebayagala kussaayo mwoyo eri amakubo ge gonna: |
| 28 |
N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa. |
| 29 |
Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga? Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira? Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu: |
| 30 |
Omusajja atamanyi Katonda alemenga okufuga, Walemenga okubaawo anaateega abantu. |
| 31 |
Kubanga waliwo eyali agambye Katonda, nti Mbonerezebbwa, sikyasobya nate: |
| 32 |
Kye ssiraba kinjigirize: Oba nga nkoze obujeemu ssikyabukola nate? |
| 33 |
Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana? Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze: Kale yogera ekyo ky'omanyi. |
| 34 |
Abantu abalina okutegeera baliipamba nti Weewaawo, buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti |
| 35 |
Yobu ayogera nga talina kumanya, N'ebigambo bye tebiriimu magezi, |
| 36 |
Yobu singa akemeddwa okutuusa enkomerero, Kubanga ayannkula ng'abantu ababi. |
| 37 |
Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe, Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe, Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda. |
| |
|