|
Okufa kwa Lazaaro |
| 1 |
Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali; |
| 2 |
Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde. |
| 3 |
Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde. |
| 4 |
Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo. |
| 5 |
Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo. |
| 6 |
Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu. |
| 7 |
Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda? |
| 8 |
Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda? |
| 9 |
Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuutu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno. |
| 10 |
Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye. |
| 11 |
Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa. |
| 12 |
Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka. |
| 13 |
Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo. |
| 14 |
Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde. |
| 15 |
Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali. |
| 16 |
Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba lxayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye. |
| 17 |
Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. |
| 18 |
Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano; |
| 19 |
Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwamwannyinaabwe. |
| 20 |
Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju. |
| 21 |
Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. |
| 22 |
Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa. |
| 23 |
Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira. |
| 24 |
Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero. |
| 25 |
Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: |
| 26 |
Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: |
| 27 |
N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi. |
| 28 |
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita. |
| 29 |
Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali. |
| 30 |
Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusa ngamu. |
| 31 |
Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo. |
| 32 |
Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. |
| 33 |
Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, |
| 34 |
n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe. |
| 35 |
Yesu n'akaaba amaziga. |
| 36 |
Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala. |
| 37 |
Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa? |
| 38 |
Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu. |
| 39 |
Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya. |
| 40 |
Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda? |
| 41 |
Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira. |
| 42 |
Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma. |
| 43 |
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje. |
| 44 |
Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende. |
| 45 |
Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza. |
| 46 |
Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze. |
| 47 |
Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. |
| 48 |
Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe. |
| 49 |
Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi, |
| 50 |
so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula. |
| 51 |
Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yeus agenda okufiirira eggwanga eryo; |
| 52 |
so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana. |
| 53 |
Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta. |
| 54 |
Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa. |
| 55 |
Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose. |
| 56 |
Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga? |
| 57 |
Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate. |
| |
|