| |
|
|
| 1 |
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi; |
| 2 |
olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi. |
| 3 |
Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye |
| 4 |
Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeeba gadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro: |
| 5 |
Babuuka ng bawuuma ng'amagaali bwe gawuu mira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliri bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo. |
| 6 |
Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa amaaso gonna gafuuse ebbala. |
| 7 |
Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri. |
| 8 |
So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwa nyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe. |
| 9 |
Babuuka bagwa ku ki buga; bafubutukira ku bbugwe bawalampa ne batuuka mu nnyu mba; bayingirira mu madirisa ng'o mubbi. |
| 10 |
Ettaka likankana mi maaso gaabwe; eggulu lijugumira enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwakkwazo: |
| 11 |
era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaki lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola? |
| 12 |
Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwa gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala: |
| 13 |
era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wakisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi. |
| 14 |
Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe? |
| 15 |
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu: |
| 16 |
mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka mabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye. |
| 17 |
Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, mawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa? |
| 18 |
Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be. |
| 19 |
Awo Mukama n'addamu n’agamba abantu be nti Laba, ndibareereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa: |
| 20 |
so siribauula nate ekivume mu mawanga: aye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne nbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaya .ey'ebuvanjuba, n'abasembi be au nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya we kulirinnya, kubanga akoze bikulu. |
| 21 |
Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama koze ebikulu. |
| 22 |
Temutya, mmwe ensolo ez'omu nsiko; kulanga amalundiro ag'omu ddungu aloka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo. |
| 23 |
Kale musanyuke, mmwe abaana a Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga bawa enkuba eya ttoggo mu kigera yayo ekisaana, era abatonnyeseza nkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba ya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye. |
| 24 |
N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika mwenge n'amafuta. |
| 25 |
Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, alusejjera n'akaacaaka n'akawuka, ggye lyange eringi lye nnagaba kubatabaala. |
| 26 |
Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mu kkuta, ne nutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwati wa nsonyi ennaku zonna. |
| 27 |
Era aulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda rammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi. |
| 28 |
Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa: |
| 29 |
era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange. |
| 30 |
Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka. |
| 31 |
Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omussayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja. |
| 32 |
Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita. |
| |
|