|
|
| 1 |
Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo: |
| 2 |
okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli. |
| 3 |
Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna) nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. |
| 4 |
Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe okuba obukaba, ne beegaana Yesu Kristo, ye Mwami ye Mukama waffe omu yekka. |
| 5 |
Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga byonna mwabimanya omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza. |
| 6 |
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu. |
| 7 |
Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo. |
| 8 |
Naye era benkana nabo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa. |
| 9 |
Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyaya ŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye. |
| 10 |
Naye abo bye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng'ensolo ezitalina magezi mu ebyo bazikirira. |
| 11 |
Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babuulira mu kuwakana kwa Koola. |
| 12 |
Bano ge mayinja agatalabika mu mbaga zammwe ez'okwagalana bwe balya nammwe, abasumba abeerunda bokka awatali kutya; ebire ebitaliimu mazzi nga bitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa awabiri, egyakuulibwa n'emmizi; |
| 13 |
amayengo ag'omu nnyanja ageefuukuula, agabimba ejjovu ze nsonyi zaabwe bo; emmunyeenye ezikyama eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe. |
| 14 |
Era abo yabalagulako Enoki, ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'ayogera nti Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakumi, |
| 15 |
okuleeta omusango ku bonna, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butaiya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyiabatatya Katonda bye bamwogeddeko. |
| 16 |
Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'akamwa kaabwe koogera ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bassaamu abanru ekitiibwa olw'amagoba. |
| 17 |
Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo; |
| 18 |
bwe baabagamba nti Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abasekerezi abatambula ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli okw'obutarya Katonda. |
| 19 |
Abo be baleeta okwawula, ab'omubiri, abatalina Mwoyo. |
| 20 |
Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwamniwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu, |
| 21 |
mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo. |
| 22 |
Era abalala mubasaasirenga ababuusabuusa; |
| 23 |
era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasuga amabala. |
| 24 |
Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza, |
| 25 |
Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina. |
| |
|