| |
|
Sigayooni ya Dawudi, gye yayimbira Mukama, olw'ebigambo bya Kuuai Omubenyamini |
| 1 |
Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye: |
| 2 |
Aleme okutaagula emmeeme yange ng'empologoma, Okugitaagulataagula, nga tewali anamponya. |
| 3 |
Ai Mukama, Katonda wange, oba nga nakola bwe ntyo; Oba nga obutali butuukirivu buli mu mikono gyange; |
| 4 |
Oba nga namuwalana obubi eyali n'emirembe gye ndi; (Nedda, naye nawonya eyali omulabe wange obwereere:) |
| 5 |
Ankyawa ayigganye emmeeme yange, agituukeko: Anninnyirire obulamu btvange wansi mu ttaka, Asse ekitiibwa kyange mu nfuufu. (Seera |
| 6 |
Golokoka, ai Mukama, mu busungu bwo, Weesimbe ku bukambwe obw'abalabe bange: Era onzuukukire; walagira omusango. |
| 7 |
Era ekkuŋŋaaniro ery'amawanga likwetooloole: Okomewo waggulu okubafuga |
| 8 |
Mukama aweereza omusango amawanga: Osale omusango gwange, ai Mukama, olw'obutuukiriw bwange n'amazima gange agali mu nze. |
| 9 |
Singa obubi obw'ababi: buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze: Kubanga Katonda ow'obutuukirivu ageza emitima n'emmeeme. |
| 10 |
Engabo yange eri ne Katonda, Alokola abalina omutima ogw'amazima. |
| 11 |
Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku. |
| 12 |
Omuntu bw'atakyuka, aliwagala ekitala kye; Aleeze omutego gwe, aguteeseteese. |
| 13 |
Era amuteekeddeteekedde ebintu ebitta; Emisaale gye agiteekako omuliro. |
| 14 |
Laba, alina olubuto olw'obubi; Weewaawo, eggwako lye lye ttima, era azadde obulimba. |
| 15 |
Yakola obunnya, yabusima, Era agudde mu lusalosalo lwe pakola. |
| 16 |
Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye, N'ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe. |
| 17 |
Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo. |
| |
|