| |
|
ALEFU |
| 1 |
Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama. |
| 2 |
Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna. |
| 3 |
Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge. |
| 4 |
Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo. |
| 5 |
Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go! |
| 6 |
Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna. |
| 7 |
Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga. |
| 8 |
Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala. |
|
BEESI. |
| 9 |
Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kiri. |
| 10 |
N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira. |
| 11 |
Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go. |
| 12 |
Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go. |
| 13 |
N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako. |
| 14 |
Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo byewategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna. |
| 15 |
Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go. |
| 16 |
Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. |
|
GIMERI |
| 17 |
Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo. |
| 18 |
Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go. |
| 19 |
Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira. |
| 20 |
Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna. |
| 21 |
Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira. |
| 22 |
Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza. |
| 23 |
Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go. |
| 24 |
Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. |
|
DALESI |
| 25 |
Emmeeme yange yeegasse n'e nfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri. |
| 26 |
Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go. |
| 27 |
Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo. |
| 28 |
Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 29 |
Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa. |
| 30 |
Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange. |
| 31 |
Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi. |
|
HE |
| 32 |
Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. |
| 33 |
Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero. |
| 34 |
Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna. |
| 35 |
Ompise mu kkubo Iy'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira. |
| 36 |
Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba. |
| 37 |
Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go. |
| 38 |
Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe. |
| 39 |
Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi |
| 40 |
Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. |
|
VAWU |
| 41 |
Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 42 |
Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo. |
| 43 |
So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo. |
| 44 |
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe. |
| 45 |
Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo. |
| 46 |
Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi. |
| 47 |
Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga: |
| 48 |
Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go. |
|
ZAYINI |
| 49 |
Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza. |
| 50 |
Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. |
| 51 |
Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go. |
| 52 |
Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa. |
| 53 |
Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go. |
| 54 |
Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange. |
| 55 |
Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go. |
| 56 |
Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. |
|
KEESI |
| 57 |
Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo. |
| 58 |
Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 59 |
Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza. |
| 60 |
Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira. |
| 61 |
Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go. |
| 62 |
Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
| 63 |
Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo. |
| 64 |
Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. |
|
TEESI |
| 65 |
Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 66 |
Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira. |
| 67 |
Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo. |
| 68 |
Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go. |
| 69 |
Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo. |
| 70 |
Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go. |
| 71 |
Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go. |
| 72 |
Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. |
|
YODI |
| 73 |
Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira. |
| 74 |
Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga elugambo kyo. |
| 75 |
Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa. |
| 76 |
Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo. |
| 77 |
Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa. |
| 78 |
Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo. |
| 79 |
Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza. |
| 80 |
Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. |
|
KAFU |
| 81 |
Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo. |
| 82 |
Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi? |
| 83 |
Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go. |
| 84 |
Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya? |
| 85 |
Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go. |
| 86 |
Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe. |
| 87 |
Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo. |
| 88 |
Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. |
|
LAMEDI |
| 89 |
Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. |
| 90 |
Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo. |
| 91 |
Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo. |
| 92 |
Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. |
| 93 |
Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo. |
| 94 |
Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo. |
| 95 |
Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza. |
| 96 |
Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. |
| 97 |
MEMU |
| 97 |
Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde. |
| 98 |
Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna. |
| 99 |
Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza. |
| 100 |
Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo. |
| 101 |
Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo. |
| 102 |
ooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga. |
| 103 |
Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange! |
| 104 |
Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. |
|
NUUNI |
| 105 |
Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange. |
| 106 |
Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga. |
| 107 |
Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 108 |
Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, si Mukama, nga teksawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo. |
| 109 |
Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go. |
| 110 |
Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo. |
| 111 |
Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange. |
| 112 |
Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. |
|
SAMEKI |
| 113 |
Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala. |
| 114 |
Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo. |
| 115 |
Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumeaga Katonda wange bye yalagira. |
| 116 |
Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwaubwanga ensonyi olw'essuubi lyange. |
| 117 |
Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegeaderezanga amateeka go ennaku zonna. |
| 118 |
Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba. |
| 119 |
Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenwdde njagala ebyo bye wategeeza. |
| 120 |
Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. |
|
AYINI |
| 121 |
Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukuivu: Tondekera abo abanjooga. |
| 122 |
Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjoopaga. |
| 123 |
Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu. |
| 124 |
Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go. |
| 125 |
Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza. |
| 126 |
Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go. |
| 127 |
Kyenvudde njagala ebyo bye watagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi. |
| 128 |
Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. |
|
PE |
| 129 |
Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. |
| 130 |
Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. |
| 131 |
Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeewuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira |
| 132 |
Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo. |
| 133 |
Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga. |
| 134 |
Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo. |
| 135 |
Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go. |
| 136 |
Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. |
|
TIZADDE |
| 137 |
Oli mutuukirivu, si Mukama, N'emisango gyo gya nsonga. |
| 138 |
Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala. |
| 139 |
Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. |
| 140 |
Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala. |
| 141 |
Nze ndi muto, nayoomebwa: Naye seerabira biragiro byo. |
| 142 |
Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima. |
| 143 |
Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa. |
| 144 |
Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu. |
|
KOOFU |
| 145 |
Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go. |
| 146 |
Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza. |
| 147 |
Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo. |
| 148 |
Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo. |
| 149 |
Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ag'emisango gyo bwe giri: |
| 150 |
Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go. |
| 151 |
Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima. |
| 152 |
Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. |
|
REESI |
| 153 |
Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go. |
| 154 |
Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 155 |
Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go. |
| 156 |
Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri. |
| 157 |
Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza. |
| 158 |
Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo. |
| 159 |
Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, si Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri. |
| 160 |
Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. |
|
SINI |
| 161 |
Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo. |
| 162 |
Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi. |
| 163 |
Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala. |
| 164 |
Emirundi musanvu buli lunaku nkuteadereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
| 165 |
Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. |
| 166 |
Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira. |
| 167 |
Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo. |
| 168 |
Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. |
|
TAWU |
| 169 |
Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe oktitegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 170 |
Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
| 171 |
Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go. |
| 172 |
Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu. |
| 173 |
Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo. |
| 174 |
Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa. |
| 175 |
Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga. |
| 176 |
Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira. |
| |
|