|
|
| 1 |
Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama: |
| 2 |
Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe. |
| 3 |
Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu. |
| 4 |
Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka. |
| 5 |
Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna. |
| 6 |
Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna. |
| 7 |
Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge. |
| 8 |
Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo. |
| 9 |
Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna. |
| 10 |
Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi; |
| 11 |
Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka We Basani, N'amatwale gonna aga Kanani: |
| 12 |
N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be. |
| 13 |
Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna. |
| 14 |
Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be. |
| 15 |
Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu. |
| 16 |
Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; |
| 17 |
Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo. |
| 18 |
Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga. |
| 19 |
Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama: |
| 20 |
Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama. |
| 21 |
Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama. |
| |
|