| |
|
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi. |
| 1 |
Ai Mukama, wannoonya nze, mwammanya. |
| 2 |
Omanyi bwe ntuula, era bwe' ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. |
| 3 |
Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna. |
| 4 |
Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala. |
| 5 |
Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo. |
| 6 |
Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa ki talo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako. |
| 7 |
Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go? |
| 8 |
Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli. |
| 9 |
Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo; |
| 10 |
Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata. |
| 11 |
Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro; |
| 12 |
Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli. |
| 13 |
Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange. |
| 14 |
Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala. |
| 15 |
Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi. |
| 16 |
Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. |
| 17 |
Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu. |
| 18 |
Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe. |
| 19 |
Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi. |
| 20 |
Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo. |
| 21 |
Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako? |
| 22 |
Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange. |
| 23 |
Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange: |
| 24 |
Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma. |
| |
|