| |
|
Zabbuli ya Dawudi. |
| 1 |
Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu. |
| 2 |
Kubanga balisalwa mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera. |
| 3 |
Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. |
| 4 |
Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba. |
| 5 |
Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga. |
| 6 |
Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'omusango gwo ng'ettuntu. |
| 7 |
Sirika eri Mukama, omulindirirenga a'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi. |
| 8 |
Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi. |
| 9 |
Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi. |
| 10 |
Kubanga waliba akaseera katono, n'omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. |
| 11 |
Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi. |
| 12 |
Omubi yeekoba ku mutuukirivu, Era aluma bujigi ng'amusunguwalidde. |
| 13 |
Mukama alimusekerera: Kubanga alaba ng'olunaku lwe lujja. |
| 14 |
Ababi basowodde ekitala, baleeze omutego gwabwe; Okusuula omwavu n'omunafu, Okutta abo abatambulira mu kkubo n'amazima. |
| 15 |
Ekitala kyabwe kisifumita omutima gwabwe bo, N'emitego gyabwe girimenyeka. |
| 16 |
Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi. |
| 17 |
Kubanga emikono gy'ababi girimenyeka: Naye Mukama anyweza abatuukirivu. |
| 18 |
Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna. |
| 19 |
Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga. |
| 20 |
Naye ababi balibula, N'abalabe ba Mukama baliba ng'ekisinga amasavu mu birundibwa: Balibula; balibulira ddala mu mukka. |
| 21 |
Omubi yeewola, n'atasasula nate: Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba. |
| 22 |
Kubanga abaweebwa omukisa gwe balisikira ensi; N'abo abakolimirwa ye balizikirizibwa. |
| 23 |
Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye. |
| 24 |
Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe. |
| 25 |
Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere. |
| 26 |
Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola; N'ezzadde lye liweebwa omukisa. |
| 27 |
Ovenga mu bubi, okolenga obulungi; Obeerengawo emirembe n'emirembe. |
| 28 |
Kubanga Mukama ayagala ensonga, Era taleka batukuvu be; Bakuumibwa emirembe gyonna: Naye ezzadde ery'omubi Lirizikirizibwa. |
| 29 |
Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna. |
| 30 |
Akamwa k'omutuukuivu koogera eby'amagezi, N'olulimi lwe lubuulira ensonga. |
| 31 |
Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe; Mu lugendo lwe lwonna taaseererenga. |
| 32 |
Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta. |
| 33 |
Mukama talimuleka mu mukono gwe, So talimusinza bw'alisalirwa omusango. |
| 34 |
Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, Naye alikugulumiza okusikira ensi: Ababi bwe balizikirizibwa oliraba. |
| 35 |
Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo. |
| 36 |
Naye bwe baayita, laba, taliiwo: Era namunoonya, naye teyalabika. |
| 37 |
Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe. |
| 38 |
Aboonoonyi, bo balizilurizibwa Ibonna: Enkomerero ddala ey'omubi erizikirizibwa. |
| 39 |
Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama: Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku. |
| 40 |
Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga beeyunye oyo. |
| |
|