| |
|
Ya mukulu w'abayunbi; ey'ebintu eby'eagoye. Masukiri ya Dawudi |
| 1 |
Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange. |
| 2 |
Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda; |
| 3 |
Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu. |
| 4 |
Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko. |
| 5 |
Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye. |
| 6 |
Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne rMenda, ne mpummula. |
| 7 |
Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera |
| 8 |
Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi. |
| 9 |
Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga. |
| 10 |
Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo. |
| 11 |
Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo. |
| 12 |
Kubanga omulabe si ye yaavuma; Nandiyiazizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge: |
| 13 |
Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo. |
| 14 |
Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina. |
| 15 |
Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati. |
| 16 |
Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyanye. |
| 17 |
Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi. |
| 18 |
Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi. |
| 19 |
Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda. |
| 20 |
Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye. |
| 21 |
Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu. |
| 22 |
Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna. |
| 23 |
Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe. |
| |
|