| |
|
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi, oluyimba. |
| 1 |
Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge. |
| 2 |
Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'enwmbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda. |
| 3 |
Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu. |
| 4 |
Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge. |
| 5 |
Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu. |
| 6 |
Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze. |
| 7 |
Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera |
| 8 |
Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri. |
| 9 |
Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye. |
| 10 |
Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo. |
| 11 |
Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi. |
| 12 |
Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago. |
| 13 |
Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu? |
| 14 |
Omuyinza w'ebintu byotuza bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni. |
| 15 |
Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu. |
| 16 |
Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna. |
| 17 |
Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu. |
| 18 |
Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu Bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo. |
| 19 |
Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera |
| 20 |
Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. |
| 21 |
Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango. |
| 22 |
Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja: |
| 23 |
Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo. |
| 24 |
Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu. |
| 25 |
Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa. |
| 26 |
Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri. |
| 27 |
Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali. |
| 28 |
Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera. |
| 29 |
Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo. |
| 30 |
Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo. |
| 31 |
Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda. |
| 32 |
Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera |
| 33 |
Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi. |
| 34 |
Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu. |
| 35 |
Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe. |
| |
|