| |
|
Masukiri ya Asafu. |
| 1 |
Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange. |
| 2 |
Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda: |
| 3 |
Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga. |
| 4 |
Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola. |
| 5 |
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe: |
| 6 |
Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe: |
| 7 |
Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge: |
| 8 |
So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda. |
| 9 |
Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennytuna ku lunaku olw'olutalo. |
| 10 |
Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge; |
| 11 |
Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga. |
| 12 |
Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani. |
| 13 |
Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo. |
| 14 |
Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro. |
| 15 |
Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba. |
| 16 |
Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga. |
| 17 |
Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu. |
| 18 |
Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe. |
| 19 |
Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu? |
| 20 |
Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be? |
| 21 |
Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri: |
| 22 |
Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe. |
| 23 |
Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu; |
| 24 |
N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu. |
| 25 |
Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa. |
| 26 |
N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo. |
| 27 |
Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja: |
| 28 |
N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe. |
| 29 |
Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba. |
| 30 |
Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe, |
| 31 |
Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri. |
| 32 |
Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne butakkiriza bya magero bye. |
| 33 |
Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya. |
| 34 |
Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okununoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda. |
| 35 |
Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula. |
| 36 |
Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe. |
| 37 |
Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye. |
| 38 |
Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna. |
| 39 |
Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate. |
| 40 |
Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola! |
| 41 |
Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri. |
| 42 |
Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe. |
| 43 |
Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani; |
| 44 |
N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa. |
| 45 |
N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza. |
| 46 |
Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige. |
| 47 |
N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira. |
| 48 |
Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka. |
| 49 |
Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi. |
| 50 |
Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwa bwe eri olumbe; |
| 51 |
N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu: |
| 52 |
Naye n'aggyamu abantu be ya ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo. |
| 53 |
N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe. |
| 54 |
N'abaleeta ku nsalo ey'awatu. kuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula. |
| 55 |
Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago. |
| 56 |
Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza; |
| 57 |
Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaa bwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'o bulimba. |
| 58 |
Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'e bifaananyi byabwe ebyole. |
| 59 |
Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri: |
| 60 |
N'afuluka mu weema ey'omi Siiro, Eweema gye yali ateese mi bantu; |
| 61 |
N'awaayo amaanyi ge mu bu sibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe. |
| 63 |
Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe: |
| 64 |
Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe. |
| 65 |
Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge. |
| 66 |
N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo. |
| 67 |
Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu; |
| 68 |
Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala. |
| 69 |
N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna. |
| 70 |
Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga: |
| 71 |
Mu kugoberera eadiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe. |
| 72 |
Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abalunnamyanga n'amagezi g'emikono gye: |
| |
|