| 1 |
Mumwebazenga Mukama, mukaabirenga erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga. |
| 2 |
Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna. |
| 3 |
Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga. |
| 4 |
Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna. |
| 5 |
Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke; |
| 6 |
Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. |
| 7 |
ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna. |
| 8 |
Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi; |
| 9 |
Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka; |
| 10 |
N'ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo: |
| 11 |
Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwa mmwe: |
| 12 |
Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo; |
| 13 |
Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala. |
| 14 |
Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; |
| 15 |
Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange. |
| 16 |
N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe. |
| 17 |
Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu: |
| 18 |
Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagaiamira ng'asibiddwa n'ebyuma: |
| 19 |
Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga. |
| 20 |
Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala. |
| 21 |
N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebinttt bye byonna: |
| 22 |
Okusiba abalangira be bw'ayagala, N'okuyigiriza amagezi abakadde be. |
| 23 |
Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu. |
| 24 |
N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe. |
| 25 |
N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be. |
| 26 |
N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda. |
| 27 |
Ne bassa mu bo obubonero bwe, N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu. |
| 28 |
N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Ne bajeemera ebigambo bye. |
| 29 |
N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe. |
| 30 |
Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, Mu nju za bakabaka baabwe. |
| 31 |
N'ayogera, ebitole eby'easowera ne bijja, N'easekere mu nsalo zaabwe zonna. |
| 32 |
N'abawa omuzira mu kifo ky'enkaba, N'omuliro ogwaka mu nsi yaabwe. |
| 33 |
Era n'ekuba n'emizabbibu n'omituni gyabwe; N'amenya emiti egy’omu asalo zaabwe. |
| 34 |
N'ayogera, enzige ne zijja, N'obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo. |
| 35 |
Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne birya ebibala eby'ettaka lyabwe. |
| 36 |
Era n’akuba n'ababereberye bonaa abaali mu asi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna. |
| 37 |
N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu omu mu bika bye. |
| 38 |
Misiri n’esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko. |
| 39 |
N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gabsakirenga ekiro. |
| 40 |
Ne basaba, n'aleeta obngubi, N'ebakkusa emmere ey'omu ggulu. |
| 41 |
N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiitiika; Ne gakulukuta ma bifo ebikalu. |
| 42 |
Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we. |
| 43 |
N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abatonde be n'okuyimba. |
| 44 |
N'abawa easi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga: |
| 45 |
Balyoke bakwateaga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama. |
| |
|