| |
|
|
| 1 |
Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga! |
| 2 |
Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo. |
| 3 |
Abakungu baamu wakati mu kyo mpologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu misege gya kiro; tebafissaawo kintu okutuusa enkya. |
| 4 |
Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo. |
| 5 |
Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi. |
| 6 |
Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu so tewali atuulamu. |
| 7 |
Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna. |
| 8 |
Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwa kabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; ku banga ensi zonna omuliro ogw'obu ggya bwange gulizirya. |
| 9 |
Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumu weereza n'omwoyo gumu. |
| 10 |
Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya. |
| 11 |
Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebi kolwa byo byonna bye wansobya kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu. |
| 12 |
Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama. |
| 13 |
Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebital bya butuukirivu so tebalyogera eby'obulimba so n'olulimi olukuuss terulirabika mu kamwa kaabwe kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa. |
| 14 |
Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi. |
| 15 |
Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri. |
| 16 |
Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya; ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira. |
| 17 |
Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba. |
| 18 |
Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali. |
| 19 |
Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna. |
| 20 |
Mu biro ebyo ndibayingiza, nemu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama: |
| |
|